Jeremiah 9:2-6

2 aWoowe singa mbadde n’ekisulo
ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
bibiina by’abasajja ab’enkwe.

3 b“Bategeka olulimi lwabwe
ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
era tebammanyi,”
bw’ayogera Mukama.
4 c“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
5Buli muntu alimba muliraanwa we
era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 dMubeera wakati mu bulimba;
mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Copyright information for LugEEEE